Friday, March 06, 2009

For a Ugandan Girl

Girl from Bristol

Waliyo omuwala asul'ebulaaya
Anti mu overseas
Eyo gyakola okuyiiya.

Kati eyo mu Bulaaya,
In a town called Bristol
Emere y'agigaaya
Okusingira ka sanya.

Totegedde ka sanya?
Mu luzungu ye lasagne.
Mbu kawooma nga ka pizza
Er'olubuto ka luganya.

Naye sitontoma ku byaateka mu kamwa
Era siyogera ku bimuwonya enjala,
Wabula njagadde muweeyo obugambo bubuno
Amanye nti gyaali, tetuukome kumwagala.

Kubanga akamwenyu ne ssanyu lye lyalina
Bitujukizza ntino Mukama atwagala,
Ng'omusana bwe gukeera ne gutuwa etaala
Naye bwamulisiza essanyu bwemusanga ne tuwaya.


Wink wink
Post a Comment